Ekisubi kimera ekiwangaala mu nimiro ekirina ebikoola nga bitono nga biwaanvu era nga kinansangwa mu bintu bingi ebyensi. Ekisubi kyekimu ku birime ebyetunzi ebya kawoowo ebirimibwa mu India.
Ekisubi kirimibwa n’emubitundu bingi ebyobunyogovu nebyolukalu mu Africa. Kirina emigaso egyeddagala mingi wamu n’ebyobulam. Kisobola okutekebwa ku kyaayi owabulijjo okumuwa akaloosa akalungi. Ekisubi kijjudde ebintu ebiyamba okulwanyisa cancer era n’ebutto wakyo akosebwa mu kuyunga ebinywa. Kiyamba okukendeeza omusujja n’ekifuba. Kirimu n’ekirungo ekikendeeza amasavu, kikendeeza ekkabyo okusaala ku nkuba y’omutima (pressure), kirongoosa omubiri, kiyamba ku bafuna obuzibu mu nsonga za bakyala wamu nobusundo.
Ebika
Ebimu ku bika by’ekisubi ebitundibwa mulimu, Sugandhi praman PRL-16, CPK-25, OD-408, RRL-39, pragathi ne Kaveri.
Embbera y’obudde mwekisinga okukulira obulungi wewo nga wabugumamu walufu nga omusana gutuukawo bulungio wamu n’enkuba nga ya 200-250mm nga etoonya sizoni zona mu mwaka.
Ekisubi kisobola okulimibwa awatabeera nnyo nkuba kasita oba nga ojja kufukirira.
Ettaka eryetagisa
Ekisubi kikula bulungi mu ttaka eryenjawulo okuvira ddala ku lidugavu erigimu paka ku lyolunnyo naye eryolusenyu wamu nerimyufu nga litambuza amazzi bulungi nga era mulimu obugimu obwobutonde.
Bwoba osiimba mu bulimiro, osobola okukozesa ettaka erisibwa mu buveera oba ettaka ly’omunimiro nga rigimu. Ettaka eriregamamu amzzi tolitunulira kusimbako kisubi. Ekisubi kisinga kusimbibwa nga okuuza ensingo mu beedi. Kisobola nokusimbibwa nga oyawuuva ebikolo nosimba kamu kamu.
Ebotonde ebikosa ekisubi wamu n’endwadde
Tewaliwo nnyo bulwadde bwamany, kitonde oba kiwuka kigambibwa kukosa kisubi. Wabula, olwokuba kilwawo mu nimiro, kikosebwa omuzira mu biseera by’obunyogovu.
Amakungula g’ekisubi agasooka gasubirwa ku myezi ena oluvanyuma lwokusimba. Kiwabulibwa okusiimba ekisubi nga omuzira guyise. Ebiseera ebisinga ekisubi kimanyi okwesiba mu biseera byobunyogovu. Ebikoola ebikungulibwa bisobola okuterekebwa mu kisikirize okumala enaku satu nga tebinafumbibwa.