Obulimi bw’akalituunsi mu Uganda

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=7I7abma7I40&t=78s

Ebbanga: 

00:15:19

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

FARMERS BASKET UGANDA
»Kino kika ky'amiti kipya ekikula amangu era nga kisobola okulimibwa mukitundu kya Uganda kyonna.«

Kalituunsi asimbibwa nga weeyambisa endokwa era asobola okutandika okukungulwa okuva ku myeezzi 6 okutuuka ku mweezi 12. Emitti gy‘akalituunsi gyatunzi era girina akatale kamanyi. Bwomala okugula emitti gino girina n‘obusobozi okuddamu okula gyokka.

Mukugattako Weetanire okusimba emitti gy‘akalituunsi emirongoosemu mu kifo ekituufu bwoba oyagala okufuna ensimbi eziwerako okuva mubulimi bwe mitti gy‘akalituunsi.Emitti gyakalituunsi emirungi gibeera gy‘ewetako wagulu kukasongezo bwegiba nga gikyaali mito.

Ensimba n‘endabirira

Tandika na kukabala kifo awagenda okusimbibwa emittti osobole okugonza ettaka. Ekirala koola omuddo buli kiseera kisobozese emitti egyisimbiddwa okukula obulungi.

Kakasa nti osimbira  mumabanga ga mita 3 ku 3 kisobozese emitti gino okukula obulungi. Ekirala bwoba osiimba wetanire nyo okozesa emitti egirongosedwamu kubanga gino girina obusobozi okukula obulungi awamu n‘okugumira embeera y‘obudde.

Nekirala tta ebiswa munimiro awagenda okusimbibwa emitti gy‘akalituunsi kino kiyamba okugoba enkuyege munimiro. Bwoba omaze okusimba emitti ffukirira okwetoloola omutti ogusimbiddwa nga weeyambisa edagala erigoba enkuyege.

N’ekisembayo oluvanyuma lw’okukungula kalituunsi sambula ekisambu oddemu osimbe emitti gy‘akalituunsi emirala.

Endabirira y‘emerusizo

Ngatonasiimba ndokwa za kalituunsi nyika ekitundu ekigenda okusimbibwa muttaka mukigyimusa ekiyamba emirandira okula obulungi.

Mukugattako emitti gyibikeko ekiveera ekyeeru kino kigisobozesa okufuna akasana akamala okula obulungi.

Mukw’eyongerayo bikka obuveera omusimbiddwa emitti okusobola okugikebera enkula y‘emirandira gyaagyo. Emitti gyibikuleko ekiveera buli kumakya gisobole okufuna kukasana.

Wewale obutafukirira mitti buli kiseera okusobola okwewala endwadde eziyitibwa “fungal“. Ekirala bwoba osimba kozesa ettaka ekalu ate nga lya musenyu.

N’ekisembayo oluvannyuma lwo mweezi 1 emitti gino gyigyeeko ekisikirize oluvannyuma ogifukirireko ekigimusa eky‘amazzi gisobole okukula obulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:54Kalituunsi akula mangu, akozesebwa nga enku, ebikndo byamasanyalaze. Siimba endokwa ennungi era zirabirire obulungi.
01:5503:29Siimba endokwa zakalituunsi enongoseemu mubugazi bwa mita satu ku satu.
03:3004:59Kalituunsi aliko alina akatale n‘abagba. Kakasa nga osiimba omuti gwakalituunsi omulungi mukifo ekituufu.
05:0005:50Kabala kifo awagenda okusimbibwa emittti wamu n‘okukoola omuddo mukalituunsi.
05:5106:58Sima buli kiswa ekiri awagenda okusimbibwa emitti awamu n‘okufukurira edagala eritta enkuyege okwetoloola emitti egisimbidwa.
06:5908:30Emitti gyakalituunsi emirungi gibeera gy‘ewetako wagulu kukasongezo bwegiba nga gikyaali mito.
08:3109:20Emitti gy‘akalituunsi gyisobola gyokka bwoba omaze okungula era gyekubisaamu mangu.
09:2110:53Bwomala okukungula kalituunsi kabala ettaka oly‘oke osimbe kalutuunsi omulala. Kalituunsi asimbibwa na ndokwa.
10:5411:39Endabirira y‘emerusizo: Ngatonasiimba ndokwa za kalituunsi nyika ekitundu ekigenda okusimbibwa muttaka mukigyimusa ekiyamba emirandira okula obulungi.
11:4012:31Emitti gyibikeko ekiveera ekyeeru era kebera . Situla obuveera omusimbiddwa emitti okusobola okugikebera enkula y‘emirandira.
12:3213:25Bikula ekiveera ekibise ku mitti gy‘akalituunsi buli kumakya era wewale obutafukirira mitti buli kadde.
13:2615:19Siimba emitti ku ttaka eritabidwamu ly‘omusenyu, emitti bwegigenda gikula gibikule gifune kumusana ate bwegiweza omwezi giteekeko ekigimusa eky‘amazzi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *