»Okumerusa empeke okuliisa ebisolo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/sprouting-grains-livestock-feed

Ebbanga: 

00:14:58

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Atul Pagar, Govind Foundation
» Empeke bweziba zinyikidwa mu mazzi okumala ebbanga nezirekebwa okumera, zireeta emitunsi oba enimi. Nga zinywa amazzi ensigo ezimeze zizitowa emirundi ebbiri ku buzito bwazo. Ezimeruse nyangu okugaaya okusinga empeke, kubanga okumera kukyuusa sitaki yena ali mu mpeke nafuuka sukaali. Ezimeruse era ziba n‘ekirungo kya enzyme ekiyamba ensolo okugaaya. Okumera kwongera ku minerals, vitamini ne proteins mu mpeke. «

Ebyobulunzi byamugaso nnyo mu nsolo kubanga bivaamu enyama, amata ne sente. Okuziriisa empeke ezimeruse nga emerusibwa kyongera ku bivaamu era nekiyamba okuziyiza obulwadde okubalukawo.

Okwongerako emere erimu byonna erina okubamu protein, amanyi, minerals wamu -ne vitamini, wabula emere y‘ensolo entabule ya bbeeyi nolwekyo okumerusa emere okuva mu mpeke ekola nga emere ey‘ebbeeyi entonoko eyomutindo olwo nokendeeza ku sente zosasanyiza ku kulya, Okugattako mu budde obwe buggumu empeke zimala esaawa 16 ku 18 okumera ate zimala esaawa 24 mu bedde obunyogovu.

Emitendera okutuuka okumera

Tandika na kugula nsigo enamu ezomutindo era okubere okumeruka kwazo okukakasa nti zimerera kumu. Okwongerako empeke ziteeke mu kintu oyiwemu olubatu oba ekintu kyolubatu ky‘omunnyo okuziyiza embimbu okumera ku mpeke ezimeruka. Olwo oyiwemu amazzi agekibugumirize, kino kiyamba empeke okumera. Okugatako ensigo ezidda kungulu zigyeko okusobola okumerera okumu.

Nga omaze ekyo empeke zinyike okumala esaawa 12 nga ziri mu kisikirize era esaawa 12 bweziyitawo okenenulemu amazzi, oteeke empeke mu kutiya/ensawo eya kolebwa mu pamba obisibe bulungi okukola ebbugumu munda. Kakasa nti ensawo ogikumira mu kisikirize era obunyololo bwebuvayo empeke zigyemu mu nsawo oliise ebisolo.

Ekisembayo, okubirizibwa buli nsolo okugiwa ekintu kya kilo y‘empeke ezimeruse buli lunaku, olubutu 1 oba 2 ku mbuzi emirundi ebiri mu wiiki era enkoko oziwe olubatu lumu buli lunaku. Ensolo ezirisidwa empeke ezimeruse zirina okuwebwa emere endala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:00Okutabula emere y‘ebisolo obulungi kyongera ku bivaamu wamu nokwewala endwadde okugwawo.
02:0102:39Emere erimu byonna erina okubamu protein, amanyi, minerals wamu -ne vitamini.
02:4004:05Ebirungi by‘okumerusa empeke.
04:0605:58Ensigo ezimeruse yangu okugaaya, nyangu okuzaaza, kyetagisa awantu watono, empeke ez‘enjawulo zisobola okukozesebwa, zongera ku biva mu bisolo.
05:5908:49Emitendera egiberamu; gula nsigo enamu ezomutindo era okubere okumeruka kwazo.
08:5009:08Empeke ziteeke mu kintu era oyiwe mu olubatu oba ekitundu ky‘olubatu lw‘omunnyo. .
09:0909:36Yiwamu amazzi amayonjo agabuguma, ensigo ezidda kungulu ozigyeko era empeke ozinyike okumala esaawa 12 nga ziri mu kisikirize.
09:3710:02E saawa 12 bweziyitawo okenenulemu amazzi, oteeke empeke mu kutiya/ensawo eya kolebwa mu pamba obisibe bulungi.
10:0310:59Ensawo gikumire mu kisikirize, emitunsi bwegivaayo, empeke ozigye mu nsawo owe ebisolo birye.
11:0012:30Buli nsolo giwe ekitundu kya kilo y‘empeke ezimeze buli lunaku era ozongerezeko emere endala.
12:3112:59Embuzi ziwe olubatu 1 oba 2 olw‘empeke ezimeze emirundi ebbiri mu wiiki era enkoko oziwe olubatu 1 buli lunaku.
13:0014:58Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *