Enkoko zatunzi munsi yonna kubanga zirimu ensimbi nnyingi ate nga n‘enyama yaazo yeyambisibwa mukufumba. Enkoko ennamu obulungi zibiika amagi mangi.
Esangi zino enkoko ezamagi ezirundibwa zibiika amagi 300 buli mwaka era oluvannyuma lw‘emyezi 12 enkoko zikendeeza kumagi agabikibwa. Ebimu kubiretera enkoko okubiika obulungi biri nti enkoko zirina okuba nga namu era nga ziri mumbeera nungi. Mubulunzi bw‘enkoko kyamigaso nnyo okukumira enkoko munnyumba kubanga kino kiziyaamba okula obulungi, okwetagira e‘ndwadde awamu n‘okubiika obulungi.
Ebigobererwa mubulunzi
Buli kiseera likiriza enkoko ku biriisa ebirimu ekirungo ekigumya amagumba „Calcium“ kino kiyamba enkoko okubeera n‘amagumba amagumu awamu n‘okibiika amagi agalina ekisusunku ekigumu. Ekirala enkoko zikuumire munnyumba zaazo okwetagira endwadde wamu n‘ebisolo ebiziyigannya. Kakasa nga enkoko zirisibwa kumere ey‘omutindo nga erimu ebirungo ebiziyamba okula wamu n‘okubiika obulungi. Nekisembayo enkoko toziriisa mmere nnyingi kisisobozese okubiika obulungi. Enkoko ezibiika obulungi ziba nekisakiro nga kigoonvu, zibeera zamanyi ate nga nene bulungi wabula ezo ezitabiika bulungi ziba nkovu ate era nga nafu nyo.