»OBULIMI BW‘EMITI EKIKA KYA MAHOGANY«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=vLLBkVX2Gd0

Ebbanga: 

00:05:34

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Mahogany kika kya muti ekikula nga kyegolodde n‘olubaawo olumyukirivu. Ebika byagyo ebisatu biri; Swietenia macrophylla, Swietenia mahagoni ne Swietenia humilis«

Mahogany kika kya muti,ekikula nga kyegolodde, n‘olubaawo olumyukirizi. Ebika ebisatu ebya mahogany mulimu; Swientenia macrophylla, Swietenia mahagoni ne Swietenia humilis.

Emiti gya Mahogany akulira nnyo mu bifo ebirimu enkuba ebya America, Asia ne Afirika. Gumanyikiddwa olwa langi yagwo emyufu, obugumu, buwangaazi, tegukosebwa mazzi ate gya muwendo nnyo.Omuti guno gusobola okuwanvuwa okusuka mu fuuti 60 neguweza obugazi bwa fuuti 4 ne 5. Omuti gwa mahogany omulungi gusinga kukulira mu ttaka gimu.Ettaka liteekebwateekebwa okukakasa nti omuddo ogwonoona ebirime guggyiddwamu. Basima ebinnya eby‘ekipimo kya fuuti 1.5 ku fuuti 1.5 ku fuuti 1.5. Ekintabuli ekiri mu kinnya kibeeramu ekigimusa ekivunze, n‘ekiriisa kya oil neem cake n‘ettaka ly‘okungulu.

Okujjuza ekinnya n‘okukiwa amabanga

Ekintabuli ekitabuddwa kitegekebwa nga batabula ebirungo eby‘enkanankana ebya ekigimusa ekikoleddwa okuva mu butonde ne ttaka ly‘okungulu nga bagaseemu ekirungo kya oil neem cake ekiweza 200g. Ebinnya birina okujjuzibwa wakiri wiiki bbiri nga tebanaasimba kisobozese ekintabuli okunyikira. Enkondo esobola okuteekebwa mu makati g‘ekinnya esobole okulabirwa amangu mu budde bw‘okusimba.

Amabanga agakirizibwa mu kusimba emiti gya mahogany gali fuuti 6 ku fuuti 6.5.

Okufukirira n‘engeri y‘okukozesaamu ekigimusa

Okufukirira kulina okukolebwa amangu ddala nga omaze okusimba. Mu wiiki bbiri ezisooka, okufukirira kulina okukolebwa mu nnaku ez‘enjawulo. Oluvanyuma, okufukirira kulina okukolebwa omulundi gumu mu nnaku 3 ne 4.

Teekamu ekigimusa ng‘okyawuddemu emirundi munaana. Mu mwaka ogusooka, kozesa ekirungo ekiyitibwa NPK 17:17:17 n‘ebigimusa ebyetaagisibwa mu bungi n‘ekipimo kya gram 200 ku buli kimera buli mwezi okujjako mu biseera nga tekikyakula. Kino kikolebwa nga basima ebinnya bya fuuti 1 okuva ku kimera. Teekamu ekigimusa mu kinnya era okijjuzeemu ettaka.

Ebiseera ebituufu n‘okukungula

Mahoganya asinga kukulira nnyo mu ttaka egimu ate nga likuuma amazzi, mu budde obuweewevu n‘ebbugumu lya kipimo kya 25 ne 44°C bigiyamba mu kukula kwagyo n‘enkuba ey‘ekipimo kya 1200 ne 2500mm. Ettaka ly‘olusenyu lye lisinga okuba eddungi okusimbako mahogany.

Okukungula kukolebwa nga omuti guwezeza emyaka kumi n‘obugazi bwa 27.2cm nga gulina obuwanvu bwa mita 23.2. Buli yika y‘ettaka evamu emiti 1200 ne 1500 n‘embaawo eziweza fuuti 3600 ze ziyinza okutundibwa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:37Ebika ebisatu eby‘omuti gwa mahogany mulimu;Swietenia macrophylla, Swietenia mahogoni ne Swietenia humilis.
00:3801:17Omuti gwa mahogany gusobola okuwanvuwa ne gusussa fuuti 60 n‘eguweza obugazi bwa fuuti 4 ku 5
01:1801:49Okuteekateeka y‘ettaka
01:5002:23Okujjuza ekinnya n‘okukiwa amabanga
02:2403:12Okufukirira n‘engeri y‘okukozesaamu ekigimusa n‘ekipimo kyakyo
03:1304:08Ebiseera ebituufu emiti gya mahogany mwegikulira.
04:0905:04Okukungula n‘okufuna mu miti gya mahogany.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *