Erinnya ekigajji liva mu kigambo ky‘oluwalabu ekiyitibwa “Alloeh“ ekitegeza ekintu ekinyereketa nga ate kikawa.Ekitundu ky‘ekikoola eky‘omunda kirimu ebizigo n‘amasanda agakozesebwa mu kukola eddagala erisinga.
Ekigajji kirimu ebiriisa bya vitamini A, B1, B2,B6, B12 ne folic acid ne niacine. Eddagala Aloe vera contains Vitamins A, B1, B2, B6, B12, folic acid and niacine. Eddagala erikolebwa okuva mu kigajji likozesebwa ng‘oyidde oba akasana nga kakubabudde, mu ngeri y‘emu kiwonya endwadde z‘olususu nga eczema, pruritus, psoriasis,ne acne. Ekimera kino tekirina nduli era kirina obuwanvu obwa 24 ne 39cm nga kikwafu ate kirina omubiru. Endokwa zikula nga ziva ku mirandira gy‘ekimera nga endu z‘ebitooke. Okufukirira kukolebwa naddala mu budde bw‘ekyeya singa kiba kyetaagisiddwa kuba kiggumira embeera y‘ekyeya.
Ettaka, embeera y‘obudde n‘okulekawo amabanga
Ekigajji kikulira mu budde obw‘ebuggumu n‘obw‘enkuba. Ettaka egimu erikuuma amazzi ate ngalirimu ekigimusa lye lyetaagisa.Enkuba ey‘ekipimo kya 1000 ne 1200mm nayo yetaagisibwa. Gikulira nnyo mu budde bwa kasana naye kikosebwa amazzi agalegamye.
Ebbanga lya fuuti 1.5 ku fuuti 1.5 oba fuuti 2 ku fuuti 2 ligobererwa. Okuteekateeka ettaka kukolebwa nga bakabala emirundi 2 ku 3 okuggyamu omuddo ogwonoona ebirime n‘okugonza ettaka. Okuseteeza ettaka kwe kugobererwa. Emiwatwa egya mazzi gikolebwa nga gyawuliddwa n‘ebbanga lya fuuti 15 ku 20
Okuteekamu ebiriisa
Teekamu ebiriisa by‘ekipimo ekya tonnes 8 ku 10 eza FYM nga tonaaba kuteekateeka ttaka. Nga tonakola kukabala kusembayo teekamu ekirungo kya kilo 35 eza nitrogen, kilo 70 eza phosphorous pentoxide ne kilo 70 eza potassium oxide. Teekamu kilo 350 ku 400 ez‘ekirungo kya neem cake ku buli yika 14 okuziyiza enkuyege. Okukoola kukolebwa oluvanuma lw‘ennaku 40.
Mu mwezi gw‘omwenda n‘ogw‘ekkumi, osobola okuteekamu kilo z‘ekirungo kya nitrogen 35 ne 40.
Okukungula n‘oluvanyuma lw‘okukungula
Kozesa ekigimusa eky‘obutonde ekikuuma ekimera nga omubisi gwa katungulu ccumu omukolerewo, lita 2 ne 3 eza neem oil, ekikenenuddwa mu taaba ekya 20ml biwa amakungula amalungi.Ekigajji okukula obulungi kitwala emyezi 18 ne 24 n‘ekimera ebimuli bya kyenvu. Kisobola okukungulwa emirundi ena mu mwaka nga osala ebikoola okuva ku kimera.
Okusala ekigajji kukolebwa mu budde bw‘okumakya oba eky‘eggulo era ekimera kiyinza okukungulwa okumala emyaka ettaano. Oluvanyuma lw‘okukungula, leka ekimera kiwotoke mpozzi n‘okuvamu obuwewevu.