»Engeri y‘okukolamu nnakavundira nga weeyambisa ensiringanyi | Engeri y‘okukolamu nnakavundira w‘ensiringanyi awaka nga weeyambisa ebisigalira byomuffumbiro.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://youtu.be/6Ejq4pbANww?list=PLc2ihPn5-J7Yqmx8a5q-TcB_FfXJTojOo

Ebbanga: 

00:03:34

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Nnakavundira w‘ensiringanyi kyekyo ekiva mu kuvunda nga okozesa ebika by‘ensiringanyi eby‘enjawulo, naddala ekika ekya red wigglers, ekya white worm, n‘ensiringanyii endala, okutondawo omugatte gw‘ebisigalira by‘emmere, ebyalirirwa wamu n‘obusa bw‘ensiringanyi. Nnakavundira w‘ensiringanyi kyekyo ekifunibwa ng‘obusa bw‘ensiringanyi oluvannyuma lwazo okulya n‘okumenyaamenya eby‘obutonde. «

Ekigimusa eky‘ekika kino kikozesa nsiringanyi ez‘ebika eby‘enjawulo okwongera ku kuvunda kw‘ebyo eby‘obutonde ebibeera bisigalidde mu ffumbiro okufuna ekigimusa ekirungi. Ekivaamu ye nnakavundira ow‘ensiringanyi.

Tegeka ebisawo omukolerwa ekigimusa kino nga kirina obugazi bwa mmita emu n‘obuwanvu bwa mmita ttaano. Teekamu eby‘obutonde ebitakyetaaisa. Fukirira ekisawo ekyo. Kikuume nga kirimu otuzzizzi naye nga si kibissi nnyo. Beera nga okikebereko buli lunaku. Teekamu kkiro emu ey‘ensiringanyi, ekika kya African night crawlers mu buli kisawo. Ensiringanyi zirya ebyo bye wataddemu nga bifisse mu ffumbiro era ne ziyisa ebyo bye ziridde mu lubuto lwazo. Kino kikuwa obusa bw‘ensiringanyi obw‘obuweke obumanyiddwa nga nnakavundira w‘ensiringanyi.

Enkola eziyambako wamu n‘ebikolebwa okutangira akabi

Ensiringanyi zaagala nnyo embeera y‘ettaka eriddugavu. Teekako ekibikka ku kisawo mw‘okolera ekigimusa naye laba nga empewo eyitamu bulungi. Osobola okukozesa obukutiya oba ekintu ekirala kyonna ekiri mu kitundu kyo. Weewale okukozesa ekiveera kubanga kiyinza okukuumiramu ebbugumu n‘omukka oguteetaagisa. osobola okukola nnakavundira ono omutonotono nga weeyambisa ebbaafu enkadde nga wa kuteeka mu kalimiro ko akatonotono.

Weewale ebintu ebya butto n‘ebyo ebiteetaagisa ebiyinza okuleeta enkuyege. Kebera ku luzzizzi olulimu entakera. Ebbula ly‘amazzi mu nnakavundira litta ensiringanyi so ate n‘amazzi agayitiridde gajja kuzigoba. Nnakavundira oyo abeera atuuse okukozesebwa oluvannyuma lw‘omwezi gumu.

Okumuggya mu bisawo mw‘akolerwa n‘engeri y‘okumukozesa

Muggyeemu nga otandikira ku oyo ali ku ngulu. Sengejja nnakavundira okuggyamu ensiringanyi n‘ebyo ebitaavunda. By‘oggyeemu bizzeemu mu kisawo mw‘okolera nnakavundira.

Nnakavundira oyo asobola okukolerawo oba okuterekebwa nga olinda lw‘oliddamu okuteeka ekigimusa mu nnimiro. Laba nga oleka nnaavundira akale na mpewo nga tonnaba kumutereka. Abeeramu ebiriisa ebinene n‘ebitono ebyetaagibwa ebimera. Asobola okukozesebwa nga osimbuliza, mu kuteekateeka ettaka mu nnimiro nga ogenda okusimba oba nga‘eky‘okwongereza ku ttaka ebbalibbali.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0101:07Nnakavundira w‘ensiringanyi akozesa ebika by‘ensiringanyi eby‘enjawulo okwongera ku kuvunda kw‘ebintu eby‘obutonde.
01:0802:06Enkola eziyambako wamu n‘ebikolebwa okutangira akabi. Ensiringanyi zaagala nnyo embeera y‘ettaka eriddugavu.
02:0703:34Nga oggyamu nnakavundira, tandika n‘oyoali kungulu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *