Enkoko ez‘ennyama ky‘ekika ky‘enkoko ekisinga okulundibwa mu India. Zirundibwa kuzitunda ng‘ez‘ennyama. Enkoko ez‘ennyama zirina oluliba olwa kyenvuyenvu n‘ebyoya ebyeru.
Waliyo ebika bibiri eby‘enkoko ez‘ennyama: ez‘ennyama ez‘okufunamu ssente zirundibwa kuzitunda ng‘ez‘ennyama kyokka, okugeza; ekika kya avian. Waliwo n‘enkoko ey‘ennyama naye nga ya migaso ebiri giyite dual purpose. Endyo ezigwa mu kika kino zirundwa okuzifunamu amagi n‘ennyama, okugeza, Rhode Island Red. Zigejja ne zifuna obuzito kwe ziyinza okuliirwa nga zikuze okuweza wiiki wakati w‘ennya n‘omukaaga. Enkoko zino zirimu amatuluba abiri. Ettuluba ery‘enkoko ay‘ekika ekimu era zirundibwa mu kiseera ekigere. Wamu n‘ettuluba eririmu ebika eby‘enjawulo era mubeeramu obukoko ebika eby‘enjawulo nga bulina emitendera egy‘enjawulo kwe bwalulira.
Okuteekateeka ebiyumba
Ekiyumba kirina okuba nga kisitufumu era nga waliwo n‘amazzi amayonjo ag‘okunywa. Empewo ennungi eteekwa okuyita mu kiyumba ky‘obukoko obuto, eky‘enkoko ezikuze, enkoko we zibiikira mu nziringana eyo, okwewala okusaasaanya endwadde.
Fuuyira eddagala eritta obuwuka mu kiyumba nga tonnateekamu bukoko era n‘amagi we gabikkirwa wamu n‘obukoko we bukulira walina okuteekebwawo ebbugumu erisaanidde eggulolimu nga obukoko tebunnaleetebwa. Ebitonde ebirumba ebinyonyi birina okutangirwa na kukebera ku bukoko entakera okwewala endwadde okubukwata. Okukyaza abagenyi abatono ddala wamu n‘okuteeka olukomera ku biyumba kiyamba okutangira endwadde.
Ebirungi n‘ebibi ku nkoko ez‘ennyama
Ebirungi ku nkoko z‘ennyama mulimu; nnyangu za kutangira okukwatibwa obulwadde, ssente ezigenda mu kugula obukuta zisobola okwewalwa, ebiyumba byangu bya kufuuyira okutta obuwuka n‘okubiyonja, enkula y‘enkoko wamu n‘okulya emmere entono n‘ekola omulimu gwayo mu nkoko kuli wagguluko era enkoko tezibojjagana nnyo.
Ebibi ebiri mu kulunda enkoko ez‘ennyama mulimu; okulongoosa embaati kalimbwe kw‘agwa mulimu munene, okugula akayumba k‘obutimba k‘otandikirako ka bbeeyi, era waliwo n‘emikisa mingi enkoko z‘ennyama okufuna obuzimba mu kifuba n‘okulemala amagulu.
Amataala mu biyumba, endiisa n‘okuzigema
Teekamu amataala oba ekitangaala essaawa abiri mu nnya mu kukuza obukoko obuto, ekitangaala kya ssaawa abiri mu ssatu wamu n‘essaawa emu ey‘ekizikiza buli lunaku okutuuka lwe bukula. Emmere erina okubeera ey‘obulamu mu ngeri y‘ebiriisa era nga erimu eiriisa ebimala. Okugema kutera kukolebwa okuziira ddala ku lunaku olusooka nga bwakaalulwa.
Eddagala lya mareks ery‘obukoko obw‘olunaku olumu libuweebwa, ku lunaku olwokutaano okutuuka ku lw‘omusanvu obukoko buweebwa eddagala lya RDV F1, nga ziwezezza ennaku kkumi na nnya zikubwa eddagala lya IBD, nga ziwezezza ennaku abiri mu lumu zikubwa eddagala lya RDV La Sota olwo n‘ekisembayo kwe kuziwa eddagala eriyamba okusitula n‘okuwa omubiri amaanyi eriyitibwa IBD booster dose nga liziweebwa ku lunaku olw‘abiri mu omunaana.