Waliwo endyo za ssekoko nyingi munsi yonna, naye ssekoko si nyingi nnyo nga bwekiri ku nkoko n‘embaata. Newankubade, nga waky‘aliwo ebika eby‘okulondako.
Ezimu ku ndyo zino nungi mukulunda ez‘okutunda nga zannyama. Ezimu nungi mukunyumisa awaka era ezimu nungi mukulunda nga eby‘okuzanyisa awaka. Embaata ekika kya Beltsville entonotono enjeru zifanagana ekika kya Midget whites. Ssekoko zino zibiikira ddala era nga enkazi ezikuze obulungi ziyina obusobozi obw‘alula amagi obulungi amagi. Olulyo lwa ssekoko oluyitibwa oluddugavu lulimu ssekoko eziyina eby‘oya ebiddugavu. Olulyo lwa Narragansett lusibukira ddala kukizinga ekiyitibwa Rhode island. Ssekoko enkazi ezikuze zizitowa pound 18 ate nga ensajja zizitowa pound 30.
Endyo za ssekoko nga Blue slate, Royal palm ne Bourbon reds
Olulyo lwa ssekoko ekika kya Blue Slate lusobola okw‘awukanira ddala okuva kwezo enjeru n‘enzirugavu ddala. SSekoko ekika kya blue slate enkulu ezitowa pound 14 era ensajja esobola okuzitowa pound 23. Ssekoko ekika kya Royal palm kirabika bulungi nnyo era nga kiyina eby‘oya ebyeru n‘ebiddugavu. Zirundibwa lwa my‘oleso.
Ekika kya Bourbon reds kisikiriza era nga kimanyiddwa nnyo olw‘akaloosa n‘obuwoomi bwe nnyama y‘ayo. Enkazi ekuze ezitowa pound 12 ate ensajja n‘ezitowa pound 23.
Endyo za ssekoko nga Broad breasted whites, Midget white wamu ne standard bronze
Olulyo lwa Broad breasted whites lulyo lupya era nga zirundibwa nga zakutunda ku faamu. Ziyina obusobozi obw‘etagisa mukulya emere. Olulyo lwa Midget white ze ssekoko eziz‘azidwa okuva mu Broad breasted whites wamu ne Royal palm. Ssekoko enkulu ekika kya Midget enkazi eyina obuzito bwa pound 8-12 ate nga ensajja ezitowa pound 16-20.
Olulyo lwa ssekoko oluyitibwa Standard bronze lwelumu kw‘ezo ezize zibeerawo. Muntandikwa zazazibwa mu mu ssekoko ez‘omunsiko ennansi. Enkazi enkulu ezitowa pound 16 ate ensajja ezitowa pound 25.
Endyo za ssekoko nga White Holland wamu ne Heritage
Olulyo oluyitibwa White Holland lulyo lwa ssekoko olweddembe era nga nungi mukw‘alula. Ebiseera ebimu ziyasa amagi g‘azo. Enkazi enkulu esobola okuzitowa pound 20 ate nga yo ensajja ezitowa pound 30.
Olulyo lwa Heritage lulyo olubade luz‘azibwaamu okumala ekiseera kiwanvu okubeera ekika ekisinga ekugumira embeera y‘abulijjo. Olulyo luno lusobola okugumira enddwade era lusobola okuwona wakati mumbeera etali nnungi.