»Okulima ng‘okozesa nnakavundira mu Africa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=yM0HMl3qWHA

Ebbanga: 

00:08:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Green Shoots
»Okutondawo ekyongera omutindo gw‘ettaka okuva mu bisigalira ku faamu mpagi mu kulima ebirime ebikulira kungulu ku ttaka. «

Okufuna nnakavundira ow‘omutindo kisobola okukolebwa omulimi yenna. Kyeweetaaga kyokka bye bisigalira bya nnakavundira. Ebisigalira ebikozesebwa biggibwa mu bisigalira by‘ebibala ng‘ennaanansi n‘ebikuta by‘ebiyembe nga bitabuddwa wamu.

Ebirungo ebirala biva mu kitwe ky‘ennaanansi, ebipapula ebigumu, obukuta bw‘embaawo ne kalimbwe. Bino byonna bitabulwa wamu mu ntuumu okukola entuumu ya nnakavundira. Singa ebikozesebwa mu kukola nnakavundira mubaamu ebibisi n‘ebikalu, ebikalu byebisooka wansi olwo ebibisi ne biteekebwa waggulu. Kino kiyamba ebikozesebwa ebikalu okufuna obuweweevu obuva mu bikozesebwa ebibisi. Ebirungo eby‘enjawulo bigatta wamu obuwuka obusirikitu okuva mu bifo eby‘enjawulo olwo ne muvaamu nnakavundira ajjudde ebirungo.

Okutemaatema ekintabuli

Okwanguya okutemaatema ebibeera mu kintabuli kukolebwa ekirungo ekyanguya nnakavundira okukolebwa (starter oba accelerator). Bwoba tolina kirungo ekyo, temaatema ebikozesebwa mu butundu obutonotono bisobole okwemenyamenya amangu.

Kitwala emyezi 2-3 ekintabuli okuvaamu obulungi. Mu bbanga lye limu, abalimi balina okukola bino wammanga; kukyusakyusa ekintabuli buli kaseera okuggyamu empewo n‘okuddamu okugabanya obuwuka obusirikitu. Okwongeramu ebikozesebwa ebikalu ebirala entuumu esobole okufuna ebbugumu oba ebikozesebwa ebya kiragala ebbugumu bwe lisukka.

Embeera z‘obutonde ndala

Nnakavundira ow‘amazzi aggibwa mu nnakavundira nga nnakavundira ateekebwa mu kakutiya n‘annyikibwa mu mazzi. Obuwuka obusirikitu n‘ebirungo mu ttaka binnyikira mpolampola mu mazzi era kino kitwala ebbanga wakati w‘ennaku 7-10. Nnakavundira olwo aggibwamu era amazzi ago ne gasengejjebwa ne gateekebwa mu birime.

Nnakavundira ow‘amazzi ayamba ebirime okulwanyisa endwadde wamu n‘okugumira ekyeya. Atera okufuuyirwa ku bikoola ng‘amazzi malungi era nga waliwo eddaala ly‘obuweweevu mu ttaka.

Okuteekako nnakavundira

Nnakavundira atera kuteekebwa wakati w‘ebirime kungulu kw‘ettaka okuliraana ekirime. Bwaba atuuse okukozesebwa, aba awunya bulungi.

Mu kulima ebirime by‘ebikoola, okukola nnakavundira y‘enkola y‘okuddamu okukozesa ebisigalira ebikolebwa ku faamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Okukola nnakavundira kyetaaga ebisigalira okuva mu bibala nga bitabuddwa wamu.
01:3102:1Enteekateeka y‘ebikozesebwa ebibisi n‘ebikalu mu ntuumu.
02:1202:48Okwanguya okutemaatema mu nnakavundira.
02:4903:56Ebbanga nnakavundira lyatwala okutuuka okukozesebwa.
03:5705:27Engeri y‘okukozesaamu nnakavundira ku faamu.
05:2806:16Okukola nnakavundira ow‘amazzi.
06:1706:48Emigaso gya nnakavundira ow‘amazzi.
06:4908:07Okukola nnakavundira y‘enkola y‘okuddamu okukozesa ebisigalira ebikolebwa ku faamu y‘ebirime by‘ebikoola.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *