Akapiira akalimu ensigo ebeera nsigo eri mu kapiira akakolebwa mu lusennyente omutabuddwa ebirungo era ensigo zino zimansibwa mu nnimiro .
Okusimba ensigo obutereevu kikendeeza ku buzibu obuva mu kusimbuliza era kiyamba emiti emito okukula n‘erandira emigumu olwo ne kiyamba emiti egyo okukula nga migumu. Wabula, okukozesa ensigo ezibeera mu bupiira obukolebwa mu lusennyente kiyamba mu kukuuma ensigo mu ngeri ey‘obutonde etali ya busagwa. Olusennyente lukozesebwa okukuuma ensigo ppaka ng‘enkuba etonnye, n‘eggyako amanda olwo ensigo n‘efuluma. Kino kikolebwa okukendeeza ku ssente eziteekebwamu mu kusimba ebirime eby‘enjawulo eby‘amakulu n‘okwewaza ensigo okuliibwa ebinyonyi, enkukunyi ne kaamuje.
Emigaso gy‘olusennyente
Olusennyente lukozesebwa okukola obupiira obulimu ensigo kubanga teruliibwa binyonyi, nkukunyi ne kaamuje. Era lulungi eri ettaka.
Olw‘okuba emiti gitemebwa okukola amanda, okukozesa olusennyente okukola obupiira obulimu ensigo kiyamba okumaliriza omwetooloolo gw‘ebyo ebibeera mu kukozesa amanda.
Okubunyisa ensigo
Ebika by‘emiti egirondebwa okukola obupiira obulimu ensigo byebyo ebikozesebwa ennyo mu kukola amanda. Muno mulimu ebika bya acacia tortillias, acacia syel, quesadilla, nylotica.
Ensigo ezibunyisiddwa nga zimansibwa ku nnimiro nga bakozesa parachutes, ennyonyi, engamiya, abantu n‘ebirala
Ekisoomooza ku kika kino kiri nti emiti girwawo okukula.