»Engeri y‘okukolamu emmerezo erimu oluzzizzi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Kb_SPLmBQXg

Ebbanga: 

00:12:29

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm kenya
»www.Farmers.co.ke gw‘emukutu okuli obubaka bw‘ennima y‘amagoba. «

Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bukosezza nnyo eby‘emmere mu Kenya butereevu okuyita mu kukosa ensaasaanya y‘emmere n‘obuyambi.

Mu kuddamu, ekitongole ky‘ebyobulimi n‘obulunzi bw‘ebisolo n‘ebyennyanja kitongozza ennimiro eriraanye ekiyungu mu byalo ne mu bibuga n‘okuwa amaka agateesobola ennimiro eziriraanye effumbiro. Waliwo endowooza nnyingi omuntu z‘asobola okukozesa okuteekawo ennimiro eriraanye effumbiro ng‘okozesa ebikozesebwa ebiriwo.

Emmerezo erimu oluzzizzi

Emmerezo erimu oluzzizzi y‘emu ku nkola za tekinologiya eteekeeddwateekeddwa okuwa ettaka oluzzizzi olumala mu kifo ekirimirwamu ekitono. Waliwo ebika bibiri eby‘emmerezo erimu oluzzizzi; emmerezo erimu oluzzizzi engulumivu n‘emmerezo erimu oluzzizzi eyoomu binnya ey‘ebirime by‘emirandira.

Ebikozesebwa ebyetaagisa mulimu; akaveera, waya, emiti emiwanvu ena, ettaka eritabuddwamu ebigimusa mu kigero kya 1:1 buli kawuuba (wheelbarrow), omuddo omukalu oba ebisigalira mu ffumbiro, magalo, makansi, olukoba olupima, ekidomola ekifukirira, amazzi, ekitiiyo n‘endokwa.

Okuzimba emmerezo erimu oluzzizzi

Ekifo ekirondeddwa tekirina kuba mu kisiikirize era pima ekifo. Teeka obuti obutono w‘ogenda okusimba emiti. Pima akaveera akagenda okukozesebwa mu kukola ennyiriri, akaveera tekalina kubaamu bituli. Sala akaveera ng‘okozesa makansi, sala waya okusiba akaveera ku miti. Sala okusinziira ku muwendo gw‘ebifo bw‘okusimbamu era akaveera kalina okuba nga kaleegeddwa bulungi.

Kozesa amayinja amanene wansi, ku mabbali singa mubaamu amazzi mangi. Omutendera oguddako gw‘emmuddo omukalu oba ebisigalira by‘effumbiro nga enva endiirwa.

Okugattamu ettaka

Gattamu ettaka eritabuddwa n‘ebigimusa ku kipimo kya 1:1. Ettaka lirina okuba 20-30 cm mu kukka, tewali bbanga lirina kulekebwawo erisobola okuleetera okwonoona amazzi mu kufukirira.

Ng‘omaze okuteekateeka, fukirira emmerezo bulungi ogireke ppaka olunaku oluddako nga tonnasimba nva ndiirwa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bukosezza nnyo eby‘emmere mu Kenya.
00:4101:54Okuteekawo ennimiro eriraanye effumbiro ng‘okozesa ebikozesebwa ebiriwo.
01:5502:25Emmerezo erimu oluzzizzi y‘emu ku nkola za tekinologiya eteekeeddwateekeddwa okuwa ettaka oluzzizzi olumala.
02:2603:06Ebikozesebwa ebyetaagibwa mu kuzimba.
03:0804:43Okuzimba emmerezo erimu oluzzizzi.
04:4406:11Pima akaveera ak‘okukozesa mu kukola ennyiriri. Sala waya okusiba akaveera ku miti.
07:1208:49Kozesa amayinja wansi singa amazzi gaba gasusse. Omutendera oguddako gw‘emuddo omukalu oba ebisigalira mu ffumbiro.
08:5009:20Ekigendererwa ky‘omuddo omukalu kwekuteekawo ebbanga wakati w‘ettaka.
09:2110:01Gattamu ettaka eritabuddwa n‘ebigimusa ku kipimo kya 1:1 era ettaka lirina okuba 20-30 cm mu kukka.
10:0210:39Tolekaawo bbanga okwewala okufiirwa amazzi mu kufukirira.
10:4012:29Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *