Obulimi bw‘obutungulu mu Kenya bugenda bufuna mpola ettutumu olwa magoba gebuleeta. Obutungulu obutali bwa bikoola bwe businga okulimwa nga enva endirwa. Muno mulimu katungulu ccumu, akatungulu k‘ekikoola, akatungulu akaganda n‘obutungulu obunnansi naddala obuva e china
Akatungulu akalina ekikoola ekimyufu kattunzi nnyo ate era kakola nnyo. Kalimwa mu kiseera kitono nnyo ate kaba kanene noolwekyo omulimi alina okumanya ekika ekisinga okulimwa mu kifo omuli ennimiro.
Ebika by‘ensigo eby‘enjawulo
Bwomanya ekika ky‘ensigo n‘ebikikwatako, kikuyamba okumanya engeri y‘okusimbamu akatungulu koyagala, ojja kumanya amabanga agetaagibwa okusobooseza akatungulu okukula.
Kikulu nnyo okumanya ekika ky‘osimba n‘akatale ke kirina.
Okusimba akatungulu.
Mu kusimba, kabala ettaka ekimala , okube amafunfugu era okakase nti ettaka ggimun‘okumanya langi yalyo n‘ebirungo ebirimu.Obutungulu bukozesa nnyo ekirungo kya nitrogen naddala ku mutendera gw‘okusaako ebikoola mwebuggya emmere ebuyamba okukula.Bwetaagisa ekirungo kya potassium nga butandiika okuteekako ekibala, ekigimusa ekingi ennyo kiyamba ku okwongera ku bugimu bw‘ettaka. Tabula ekigimusa bulungi kubanga emirandira gy‘obutungulu minafu, ate era gye giwa akatungulu emmere n‘okutwala ekirungo kya nitrogen mu bikoola. Ekigimusa ekisinga obulungi kye kiva mu nte n‘embuzi kuba kibamu nnyo ekirungo kya nitrogen.
Okuteekateeka emmerusizo
Prepare the nursery well , nitrogen is the major requirement. Teekateeka emmerusizo naye ekirungo kya nitrogen kyetaagisa nnyo. Okumerusa kutwala wiiki wakati wa 6-8 ate okuteekateeka emmerusizo etwala wiiki 6-8 okusinzira ku kifo . Kakasa nti ensingo zifukirirwa bulungi nnyo era ziwe amabbanga zireme kwekkatira kuzinaazo. Kino kikolebwa mu myezi essatu.