Enkoko nggaga mukiriisa ekizimba omubiri era nga tufunamu ensimbi, zitera okulwaala nga zinywedde amazzi agaddugala, ekifo ekiddugala wamu n‘okulya emere etali nungi. Enddwadde ezisinga okutawaanya enkoko mulimu ekiddukano, sotoka, kawumpuli era n‘okuzingama.
Enkoko enddwadde ziyongobera era nezigaana okulya, amayunju n‘ekisunsu bisiwuuka, zifulumya oluzzizi munyindo n‘amaaso era ebinyonyi biyinza okw‘asimula buli kiseera.
Okutangira enddwadde
Ebinyonyi bwebirwaala biyinza okulekeraawo okubiika amagi, oba okubiika amagi agatali malungi, era n‘enkoko ezimu zisobola okufa olw‘obulwadde.
Okutangira enddwadde longoosa enyumba y‘azo buli lunnaku nga ojjawo kalimbwe, emere etaliriddwa n‘emansiddwa wansi.
Kakasa nti enkoko ziyina amazzi amayonjo agamala, longoosa amazzi nga weyambisa ebinzaali ebiganda oba ekirungo kya potassium permanganate okutta obuwuka n‘okutangira okulwaala.
Okuliisa enkoko
Enkoko ziwe emere erimu ebiriisa byonna, ziwe pulses n‘enva endiirwa ez‘ebikoola. Kozesa ebiriziso okukekereza emere mukuliisa enkoko. Gattamu katungulu kyumu n‘obutungulu okuyamba okutangira obulwadde.
Ebisusuunku by‘amagi birimu ekirungo kya calcium era bijanjaba obulabe obuletebwa okubulawo kwa calcium. Funa ebisusunku by‘amagi obifumbeko okumala eddakiika 10, bikaze mu musana okumala esaawa nga 4 era ozise mubutundutundu.
Okutta ebiwuka mu nkoko
Kalimbwe alimu okumyuukirira kabonero akalaga enjoka mu lubuto, okutangira kino, enkoko ziwe ebivudde mu nkomamawanga enfumbe. Fumba olubatu lw‘ebikuta okumala edakiika 15, jamu amazzi agazigade era ogawoze nga tonaba kugawa nkoko.
Mukukozesa amasanda gepapaali, sala ekikuta kyepapaali eto olembeke amasanda nga weyambisa ejiiko awo otabule n‘amazzi ag‘okunywa. Amasanda galembeke kumakya nnyo.