Kubanga kirungi okusigamu sente, okulunda ente z‘amata omutindo n‘obungi bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya akozesebwa.
Mu bulunzi bw‘ente z‘amata, amata n‘ebigavaamu biyayanirwa nyo okwetolola ensi era okutandika okulunda ente z‘amata okozeseza bantu b‘awaka. Okulunda ente z‘amata kuyinza okuwa sente ddala wamu n‘emirimu egisasula abatalina byakola.
Endabirira y‘ente z‘amata
Nga olabirira ente z‘amata ente zetaaga ekifo ekigazi munda mu kiralo okusinzira ku kika ky‘ente naye nga zitera kubeera fuuti 1 ku 1 bwewaba wetadde era fuuti 40 ku 40 munda mu kiralo buli nte. Kola emiwatwa egy‘empweo era okakase nti empewo n‘ekitangala biyingira bulungi mu kiralo.
Mungeri yemu, ziwe emere erimu ebiriisa okusobola okukula obulungi nga namu bulungi. Ziriise omuddo, ebisagazi okutukiriza obwetaavu bw‘omubiri wamu nokufuna amata amangi. Ente ziwe amazzi agamala kubanga ente ez‘amata zetaaga liita 5 ez‘amazzi okukola liita 1 ey‘amata.
Labirira bulungi ente nga oziwa emere eyekiriisa n‘amazzi amayonjo agamala. Zigemese mu budde, okuume ekiralo nga kiyonjo era ente ozinaazdnga oluberera era funa akalobo n‘ekifo ebiyonjo omukamirwa nga okozesa ebyuma oba emikolo.
Okwongerako, kola entekateka y‘okutunda nga tonatandiika faamu y‘ente z‘amata era ozirabirire bulungi. Lambulako abalunzi abalala abali mu kitundu okuyiga obukodyo obupya era n‘engeri z‘okukuza ente.
Ekisembayo, webuuze ku basawo b‘ebisolo era ofune abakozi abakugu ku faamu okusobola okufuna amata amangi.