Embalaasi mubutoonde zibeera mu nsiko newankubadde nga abaluluunzi b‘embalaasi waliwo emitendera egisookelwaako egirina okugobererwa kulw‘ebisolo okukula nga namu bulungi.
Abaluunzi balina okufuba okulaba nti embalaasi zifuna emere ey‘omutindo ssebusa gy‘asobola okukuba kubaanga embalaasi zikuba emere mugeri yanjawulo kunte , waliwo ebikozesebwa eby‘enkizo ebitandikirwaako omulunzi w‘embalaasi byebalina okubera nabyo nga tebanaba kugula bisolo era mubino mulimu emiguwa, omuguwa gwebakwaata nga ogitambuza, bulaasi, obukozesebwa mukujjako ettaka n‘omuzira, eddagala, ebifuuyira wamu n‘ebyookwebikka.
Eby‘endabirira
Tandika nakuziwa muddo, emere y‘azo e‘rimu ekirungo kya sukaali era kakasa nti ogy‘ongerezaako emere y‘empeke ey‘omutindo oluvanyuma lw‘okubuuza omusawo w‘ebisolo.
Mukweeyongerayo, embalaasi zinyweese ekimala okutaangira ebisolo kugw‘ebwaamu amazzi.
Kiriza embaraasi zibeere wabweeru ku tale ewali ebiyuumba zisobole okufuluma zirye omuddo.
Mungeri y,emu , embalaasi zisobola okukuumirwa mu biyuumba, ky‘amugaso nyo buli kaseera okw‘ebuuza ku musawo w‘ebisolo kuwwa aw‘okukuumira embalaasi kubaanga ebika by‘azo e‘bimu biyina kukumirwa munda munju ate ebirara nedda.
Okw‘ongerako, embalaasi ezikuumirwa munju ziyina okufulumizibwaako wabweeru omulundi gumu buli lunaku okusobozesa ekisolo okukola duyiro.
Kakasa nti olongoosa enyuumba y‘embalaasi buli lunaku okw‘ewala okubalukawo kw‘enddwade n‘okukebera, longoosa, komola ebigere by‘embalaasi buli ssabiiti 4 ku 8 okusinziira ku mbeera y‘obudde okuzikuuma nga namu bulungi.
Buli kiseera embalaasi zambaze engato okugeza mubiseera nga zidduka era n‘obweegendereze ku
‚umira amaaso ku mbalaasi buli lunaku oyanguyirwe okumannya ebizibuwaza obulamu bw‘ensolo kulw‘okukozesa eddagala mubudde.
Ekisembayo, kakasa nti owa ensolo eddagala ly‘ebiwuka kiziyambe okubeera mumbeera y‘obulamu obulungi.