Hay abeeramu okusinga ebisubi n‘ebimera ebyenjawulo ebisalibwa nebikazibwa. Hay atera kuyitibwa muddo gw‘abisolo era akozesebwa kuliisa nsolo. Okukoka kino waliwo emitendera emikulu egirna okugobererwa.
Okugatako, Hay asinga kukolebwa mu biseera byobutiti okusobola okufunira ebisolo emmere mu kiseera eky‘omuzira. Kikubirizibwa okukola hay mu biseera byebugumu kubanga wano omuddo guma mungi. Okwongerako, ebisubi ebibisi birina okozesebwa okugimusa ettaka kubanga biwumba mangu bwobitereka.
Emitendera nga akolebwa
Tandika nakutema ebisubi ebiwanvu era obirinde bikale nga tonabisiba kubitereka.
Era ebisubi bikirize okukala obulungi okwewala hay omubisis kubanga aleeta obubisibisi mubisubi.
Kakasa nti ebisubi obisala mu tuntu kubanga mubudde bwebuti, sukaali mu bisubi abeera wagguluko olw‘omusana omungi.
Wabula, wewale okusalira ebisubi wansi enyo oyinza okubiremesa okusibuka.
Okugatako, ebisubi byosaze byanjale, bwomala kozesa ebisiba ebisubi okukola entumu ezensonda enya oba entumu eziringa omupiira.
Olwo bwomala, entumu ozitwale weziterekebwa era ezisooka wansi ozituuze ku mbaawo okwewala okusika obunyogovu okuva wansi.
Nekisembayo, kolanga hay mu naku z‘amusana okukola omuddo ogwomutindo ogulibwa ebisolo mu budde bw‘obutiti.