»Ekikolwa III mu kukama obulungi – Okukebera n‘okujjanjaba ebbanyi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=vysmEpfdPjI

Ebbanga: 

00:03:32

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Interactive Content – The University of Edinburgh
»«

Olw‘okubeera ekiva mu nte ekijjudde ebiriisa, omutindo gw‘amata n‘obungi bwago biva ku nkama, endiisa n‘obulamu bw‘ensolo.

Ebbanyi bulwadde bwa kitundu kya mubiri ekivaamu amata, ekibeere. Obuwuka obusirikitu bulumba ennywanto nga buyita mu misuwa gyokubusongezo bw‘ennywanto ne buleeta obulwadde. Ebbanyi kulwanagana wakati w‘obuwuka obusirikitu obulumba ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.

Okukebera ebbanyi

Nga okuzuula amangu ebbanyi n‘okulijjanjaba kikendeeza okukosebwa ku bitundu by‘omubiri n‘obuwuka okusaasaana okuva ku nte emu okudda ku ndala, akama alina okukebera obulwadde bw‘ebbanyi era okwate ku butundu bwonna nga onoonya enkyukakyuka mu kibeere nga tonnakama.

Okukebera ebbanyi, ekikopo ekikebera amata kirina okukozesebwa mu buli katundu ka kibeere nga tonnakama. Kino kikolebwa nga oteeka amata ag‘okukebeza mu kikopo ekikebera, okukebera obutundu bw‘omusaayi ogwekutte mu mata. Nga ebbanyi lizuuliddwa, akama alina okukuuma amata g‘ebbanyi nga agaawudde ku mata amalungi.

Okujjanjaba ebbanyi

Omutendera ogusooka ogw‘okujjanjaba ebbanyi gwe gw‘okukamira ddala ente efunye ebbanyi era oluvannyumako amata ago gayiibwa bulungi. Nga okama ente emirundi n‘emirundi nga bwe kisoboka, obuwuka obusirikitu n‘obutaffaali obufudde buggibwa mu kibeere ekintu ekimalamu obulwadde.

Mu ngeri yeemu, okujjanjabisa eddagala mu ngeri ennungamu kugobererwa, olupiira omuyisibwa eddagala erirwanyisa obuwuka luyisibwa mu nnywanto okumalawo okuzimba n‘okukendeeza obulumi. Soma endagiriro y‘omukozi w‘eddagala mu ddagala lyonna erikozesebwa mu nte ez‘amata. Amata tegasobola kunywebwa bantu okumala ennaku eziwerako oluvannyuma lw‘okujjanjaba.

N‘ekisembayo, togatta mata galimu bulwadde na mata agavudde mu nte ennamu. Wandiika ennaku z‘omwezi, erinnya ly‘ente oba ennamba n‘ennywanto endwadde. Bino bya kugeraageranya n‘okuddamu okuzuula obulwadde singa bubalukawo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:19Ebbanyi bulwadde bw‘ebitundu ebireeta amata, ekibeere.
00:2000:25Obuwuka obusirikitu obuleeta obulwadde bulumba obusongezo bw‘ennywanto nga buyita mu misuwa ne buleeta obulwadde.
00:2600:44Ebbanyi kwe kulwanagana wakati w‘obuwuka obusirikitu obulumba ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.
00:4500:55Nga tonnakama, akama alina okukebera n‘akwata ku butundu bwonna obw‘ekibeere nga okebera enkyukakyuka mu kibeere.
00:5601:02Ekikopo kikozesebwa okukebera obulwadde kirina okukozesebwa okukebera ebbanyi mu buli katundu nga tonnakama.
01:0301:10Sooka oteeke amata mu kikopo ekikebera obulwadde okukebera obutundu bw‘omusaayi ogwekutte oba ebbanyi.
01:1101:18Nga olabye ebbanyi, yawula amata ago ku mata amalungi.
01:1901:25Omutendera ogusooka ogw‘okujjanjaba ebbanyi kwe kukamira ddala ente endwadde.
01:2601:30Amata agalimu obulwadde galina okuyiibwa awantu awalungi.
01:3101:49Nga okama ente emirundi n‘emirundi nga bwe kisoboka, obuwuka obusirikitu obuleeta obulwadde n‘obutaffaali bw‘omubiri obufudde buggibwa mu kibeere.
01:5002:04Okujjanjaba nga okozesa eddagala kulagirirwa nga okozesa olupiira oluyisibwamu eddagala mu kibeere eritta obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde.
02:0502:12Oluvannyuma lw‘okukama ente endwadde, ennywando zirina okulongoosebwa, zikubwe eddagala eritta obuwuka n‘okuzijjanjabisa eddagala.
02:1302:21Ekikopo ky‘olupiira kiggibwayo, olupiira ne luteekebwa mu nnywanto ne ziyingizibwamu eddagala.
02:2202:35Ente lw‘erabikira ddala nga ndwadde nnyo, laba omusawo w‘ebisolo okukomya obuzimbu n‘okukendeeza obulumi.
02:3602:44Soma endagiriro y‘omukozi w‘eddagala ku ddagala lyonna erikozesebwa mu nte ez‘amata.
02:4502:50Amata tegasobola kunywebwa bantu okumala ennaku eziwerako oluvannyuma lw‘okujjanjaba.
02:5102:57Togatta mata galimu bulwadde n‘amata agavudde mu nte ennamu.
02:5803:23Wandiika ennaku z‘omwezi, erinnya ly‘ente oba ennamba n‘ennywanto endwadde.
03:2403:32Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *