Abalunzi bayita mu kusoomooza kungi naye okusoomooza okusinga kwe bayitamu kusobola okugonjoolwa.
Embuzi bwe ziba n‘ebizinyuunyunta, obwoya bwazo butandika okukalabula, embuzi zirabika ng‘enjama n‘obubuto bwazo buzimba. Kino kireetera ensolo okukona n‘ebiseera ebimu okufa. Okukendeeza akatyabaga k‘obubuzi okufuna ebibunyuunyunta, tokkiriza bwana kugenda na nnyina waabwo okulya ku ttale engeri gye kiri nti tebunnakuza bulungi basirikale baabwo abalwanyisa endwadde mu mubiri era obubuzi bwanguyirwa nnyo okufuna ebiwuka.
Endabirira y‘obwana bw‘embuzi.
Wa ensolo eddagala ly‘ebiwuka buli luvannyuma lw‘omwezi gumu n‘ekitundu ku myezi ebiri era obubuzi bwe buweza emyezi esatu, osobola okubukkiriza okugenda okulya ne bamaama baabwo. Nga oziwa eddagala ly‘ebiwuka, kakasa nti owa ensolo ekipimo ekituufu kubanga bw‘oziwa eriri wansi w‘ekipimo ekituufu kifaanana ng‘atalina ky‘okoze.
Yongera ku basirikale abalwanyisa endwadde mu mubiri gw‘embuzi nga ogiwa ebirungo bya vitamiini eby‘enjawulo.
Bulijjo teeka wagguluko ekiyumba ky‘obubuzi obuto era oteeke omuddo omukalu wansi mu nnyumba yaabwo ng‘eky‘okubwalira. Kino kikuuma wansi nga wakalu ekikuumira ewala obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde engeri gye kiri nti obusinga obungi tebusobola kubeera mu bifo bikalu.
Oluvannyuma lw‘emyezi ebiri n‘ekitundu ku myezi esatu, obwana bw‘embuzi buba bukuze ekimala okwetaba awamu ne bamaama baabwo mu kulya ku ttale.
Okulamba n‘okuwa eddagala ly‘ebiwuka
Lamba obwana bw‘embuzi nga bukuze ekimala. Okubulamba nga bukyali buto kimalako ensolo emirembe era kino kiyinza okuzireetera okukona.
Wa embuzi zonna eddagala ly‘ebiwuka nga ekiseera ky‘enkuba kitandika, kubanga okubeerawo kw‘ebiwuka kuba waggulu mu kiseera ky‘enkuba. Oluvannyuma lw‘ekiseera ky‘enkuba, era ziwe eddagala ly‘ebiwuka kubanga embuzi zandiba nga zifunye ebiwuka bingi mu kiseera ky‘enkuba. .