Buto w‘ebinaazi mulungi nnyo eri bulamu kuba ava mu bimera era aliibwa atera yetaanirwa nnyo ekiyamba okwongera ku nfuna y‘abalimi n‘abamufulumya.
Omulimu gw‘okufulumya buto w‘ebinazi mwangu nnyo ate gwetaagisa ensimbi ntono ddala okutandiika, ekifo kitono nnyo ate alina n‘akatale. Naye nga tonatandiika mulimu guno fuba okulaba nga onoonya ennimiro ezirina ebinazi ebinaavamu omuzigo omulungi
Emitendera egigobererwa
Tandiika nga oyoza bulungi ebinazi n‘amazzi amayonjo bitukule bulungi.
Bw‘omaliriza teeka ebinazi mu ssepiki era oyiwemu amazzi ag‘ekigero naye nga tobikka binazi.
Awo bifumbe okutuusa nga eky‘okungulu kitandiise okuvaako.
Nga omalirizza, ssekula ekinazi nga okozesa ekinu n‘omusekuzo wabula tomementula kikalappwa.
Ekirala, gattamu amazzi agabugguma mu by‘osekudde osobole okuggyamu omubisi ogumala
Okwongerezaako, kunganya omubisi mu ssepiki endala oluvanyuma ofumbe.
Oluvanyuma lw‘eddakiika 45 ku 60 gyako essepiki ku muliro buto asobole okwesengejja kungulu.
Ng‘omaliriza, yolako buto n‘obwegendereza mu ssepiki endala n‘oluvanyuma ofumbe nate asobole okuvamu obulungi.