Okulunda ebinnyonyi kyatunzi nnyo eri abalunzi era omutindo n‘obungi bwe bivamu kisinziira ku kika kya tekinologiya akozeseddwa mu bulunzi.
Okusinzira nti omulimu gw‘okulunda ebinnyonyi nga enkoko z‘omubiyumba ezibiika amagi agaliibwa, enkoko ezokutunda zitandiika okubiika amagi nga ziri wakati wa wiiki 16-20 ate nezikoma okubiika nga ziwezeza wiiki 25 noolwekyo ku wiiki 72 ekisiibo kiba tekikyaza magoba. Embeera y‘obudde yekennenyezebwa nnyo mu kuteekateeka ebibiikiro era okubiika kubaawo mu myezi gy‘ebbugumu gyokka.
Ennunda ey‘omulembe.
Mu kulunda okw‘omulembe,ekiyumba kikolebwa ebinyuma nga bigyamu enkoko eziri wakati we 3-8 ne bisenge bikolebwa obutimba oba ekyuma ekiggumu olwo wansi wakolebwa nga waserengeta okusoboozesa kalimbwe na magi okulondebwamu oluvanyuma.
Okwongerezako, amazzi bagava waggulu negakirira wansi mu binywero n‘emmere eteekebwa mu ngogo mu maaso g‘ekiyumba okusobozesa okuddabiriza obulungi nga ebyetaago webiri. Ebiyumba by‘obutimba bitegekebwa mu nyiriri empanvu nga bigazimu erudda ne ludda kisobozese ebinnyonyi okufiibwako obulungi mpozzi n‘okulonda obulungi amagi. Okuziriisa ekitono kyetaagisa kuba kyongera ku bungi bwa magi n‘ekiziremesa okugamamira, ebiwuka by‘omunda bijjanjabibwa ekikendeeza ku muwendo gwa bakozi. Era ebinnyonyi biba bingi mu kiyumba ekiyamba ku mutindo n‘okukendeeza ku muwendo gw‘emmere gyezirya.
Mu ngeri y‘emu wansi wezibeera walina okuba n‘obuwanvu bwa miita 300. Naye ekiyumba ky‘obutimba tekisobozesa binyonyi kuyimirira ,kutambula,n‘okwalula obulungi era kimanyiddwa wonna nti ebinnyonyi byetamwa kuba ziba tezisobola kwetaya bulungi olwa mabanga amatono.
Mu kumaliriza mu kiyumba ekizimbiddwa obulungi, ebinnyonyi bifuna amabanga agamala era kyanguya okuzifaako, okulonda amagi ate nga mayonjo.
Era kyetaagisa emmere ntono ddala okubiika amagi mpozzi ne kiyumba ekikoleddwa obulungi.