Emiti gisobola bulungi okulimibwa kukibanjja kimu n‘ebimera ebirala, kino kiyamba abalimi okufuna amagoba mangi okufa kukibanja ekyo olwo n‘ekyongeza kunnyingiza y‘ensimbi.
Nga wayiseewo wiiki emu ngokusimba kuwedde ddayo munnimiro ozeemu emiti ekiba gigaanye okumera kino kikolebwa okulaba nga emiti gyonna gikulira wamu. Ekirala koola omuudo mubimera mubuddde kino kiyamba emiti n‘ebimeera okufuna ebirungo byebyetaaga okuva muttaka olwo no nebikuula bulungi era nga byeyagala, nekisembayo wetanire nnyo okufukirira ennimiro ng‘okozesa enkoola etwaala amazzi buterevu kumirandira gy‘ebirime
Ebikolebwa mundabirira
Simba emiti mumabanga omuli emiti egyasimbibwa naye nga tegyaakula era kakasa nga buli muti gusimbibwa mumabanag amatuutu okusinzira kuka kyagwo kubanga kino kiyamba emiti okula obulungi.
Buli kiseera kakasa ng‘okoola omuddo mubudde, kino kiyamba ebimeera n‘emitti okukula obulungi.
Nga wayise ebbanga lya wiiki bbiri ng‘okusimba kuwedde kenddeza kubimeera ebiba bimeze mukifo ekimu kino kikolebwa okuyamba ebyo ebiba birekeddwa wo okukula amangu.
Ennimiro gibikke essubi nga wetolooza essubi ku buli kimera kino kiyamba ettaka obutayokyebwa nnyo mubudde bw‘omusana awamu n‘okutaasa ettaka obutakulukuta okugeza ng‘enkuba etonnye.
Mubiseera eby‘ekyeeya ffukirira ennimiro ngokozesa enkola entwala amazzi buterevu ku mirandira gy‘ekimera okwewala ebimera okukala mubiseera byekyeeya.
N‘ekisembayo kakasa ng‘olambula ennimiro buli kiseera kino kikuyamba singa wabawo akabi akatuuse munnimiro olwo noyiiya ekyokola eky‘amangu.