Waliwo enkulakulana nyiingi ezeewo mu kulunda ente z‘amata okugeza nga ebyuuma ebikozesebwa mukuliisa ebiganyudde ennyo omulimi wamu n‘ensolo zenyini.
Okukozesa ebyuuma mukuliisa nkulakulana mu bulunzi bwente za mata era biyambako mukuliisa ebisolo okusinziira kubw‘etaavu bwazo, enkola eno ekozesa tekinologiya eyesaako yekka era bnga wamugaso nnyo eri abalunzi,
Emigaso gy‘enkola eno.
Ekisooka, enkola eno ekekereza emere era ekendeeza ku nsasaanya ku faamu ku mere.
Era enkola eno ekakasa nti ebirungo bitabuddwa bulungi era nebiweebwa ensolo.
Mukw‘eyongerayo era kikendeeza ku nsasaanya kubakozi n‘okukendeza ku mirimu era n‘okukuunma obudde.
Mukugattako, ensolo esobola okutegerekeka kinoomu mubwangu okusinziira ku tekinologiya eyetekako yekka.
Endiisa ey‘okweyambisa ebyuuma era eretera entabika ye mere entuufu eri buli nte ekikendeeza kubuzibu bw‘okukuba emere mulubuto ekiretebwa ebbula ly‘ebiriisa naddala mukiseera ky‘okukama n‘okuyonsa.
Mukusembayo enkola eno eyamba abalunzi okuzuula oba ensolo zilisibwa nnyo oba tezirisibwa bulungi mukukozesa emere entuufu.