Obungi n‘omutindo gwa nakavundira buva ku bikozesebwa mu ku mukola.Okukozesa nakavundira akoleddwa mu by‘obutonde alongosa omutindo n‘obungi bw‘amakungula.
Mu kukola nakavundira ,wetaaga ebikozesebwa ebyakiragala ne kitaka kubanga ebya kiragala birimu ekirungo kya nitrogen kingi ate biba bibisi. Sala ebisigalira ku bibala mu butundu butono okusobola okwanguya okuvunza. Ebikozesebwa ebya kitaka birina ekiriisa kya carbon ate biba bikalu.
Okukola Nakavundira
Mu kukola nakavundira ,toteeka mu plasitika na mitti gikaluba.Kozesa ebikoola ebitabuddwa mu ebisigalira by‘ebibala n‘ettaka. Ettaka liyamba okola omuteeko waggulu wa nakavundira okusobola okuziyiza obuwuka obuyitibwa “gnats“okumuyingira mu.
Era yongera mu amazzi okusobola okwanguya ku kuvunza era oluvannyuma lwa wiiki ntono,ekitundu kigya kuba kivunze awo nakavundira akirizibwa okuyitwamu empewo.
Jjako omutteeko ogusooka omukalu nga tonaba kutabula birungo ebiri mu kuvunda, olumala tabula bulungi n‘ebikozeseddwa ebivunze bisobole okufaanagana. Gata ebikozesebwa ebivunze n‘ebyo ebitanaaba kuvunda kisobole okwanguya ku kuvunza.Binno era biterekebwa okumala wiiki entonotono bisobole okuvunda obulungi.
Mu kumaliriza,okuva ku mwezi gumu okutuuka kw‘ebiri,nakavundira aba atuuse okutekebwa ku birime.Binno biyamba ku nkula y‘ebirime n‘okwongera ku makungulaa.