Nga tonatandiika bizinensi y‘okulunda embizzi,waliwo ebisookerwa ko by‘olina okussa mu nkola.
Nga tonatandiika kulunda wetaaga ettaka naye engeri embizzi gye zimalako abantu emirembe ,wetaaga ekiffo awatabeera bantu. Zimba ebiyumba ebirina ekisikirize n‘amabaati era nga birina ebipimo eby‘enjawulo. Ebiyumba ebitono biteekemu embizzi emmu emmu ate ebinnene bisobola ogendamu eziwerako.
Ebirala eby‘okuteekako essira.
Amazzi gamugaso nnyo. Era kirungi nnyo noba ne nayikondo kubanga tosobola kumalako ng‘amazzi ogula magule.
Wekiba kisoboka ,abalabirira embizzi zo bafunire aw‘okusula kubanga zetaaga okuzirambulirira.
Ssebusa w‘embizzi akuba mangu emmere. Osobola okuziriisa ebikanja,ebisigalira mu fumbiro ng‘ebikuta n‘ebisigalira by‘enva endiirwa ebivva mu katale.
Embizzi zizaala nnyo ,zitwala emyezi essattu,wiiki ssattu n‘ennaku ssattu.Okuzaala nga kuwedde,obubizzi obutto buleke buyonke okumala wiiki 4,wezigwano bujjeeko.
Akatale k‘embizzi kanjawulo,waliwo abagula obwakavva ku mabeere,ezikuze nabaggula ennyama yennyini.