Okufuna ekisinga mu mwaanyi, waliwo ebikolebwa ebyenjawulo ebiyamba okwongera ku makungula.
Emwaanyi ekola bulungi ddala mu bifo ebitambulamu empewo obulungi nga ne ttaka gimu. Okusimba emwanyi, sima ebinya bya buwanvu bwa fuuti 2 kwosa nobugazi bwa fuuti 2 ku njuyi zombi nga oyawula ettaka elyokungulu kwelyo erimyufu. Bwoba olina nakavundira, oba ekigimusa eky‘amazzi, kitabule mu ttaka elyokungulu okwongera ku bugimu bw‘dettaka wamu n‘obugimu obwobutonde mu ttaka. Ekinya kijuzemu ettaka ly‘okungulu , olwo osimbe omuti wakati wekinya obireke okumala omwezi. Ekinya ekisimidwa obulungi kikulu nyo ku mbala y‘emwaanyi.
Ensiimba n‘endabirira
Nga omaze okutegeka ekinya, takula akatulu wakati wekinya nga okozesa engalo oba akakumbi akatono olwo osimbemu endokwa, Sika ettaka likunganire ku kikolo okulaba nga amazzi tegalegamira ku mumuti gw‘endokwa.
Bbika ebisubi okwetoloola ekikolo okukuuma amazzi. Lekawo amabanga wakati wekikolo n‘ebisubi ebibika era obike nga oyiwako evvu mu mabanga goleseewo okusobola okugoba ebitonde ebikosa emwanyi.
Nga wayise emyezi 9 ku 10, amatabi gawete okusobola okumerusa amatabi amalala. Okugikutamywa, weta omumwanyi mpolampola ku diguli 45 okuda wansi, simba omuti mu ttaka era osibeko etabi ly‘emwaanyi lyowese.
Nga wayise ebbanga nga emwayi tekyabala nga mu kusooka, temako amatabi olekeko ekikonge. Temako endokwa zona ezimeruse olekeko nga 4 ezirabika obulungi.