Kaamulali Omuganda asobola okukuzibwa awantu awaggalire ate era ne mu nimiro eyetadde mu ttaka elyenjawulo bwaba alabiriddwa bulungi
Waliwo ebikka bya kaamulali bingi nga buli kimu n‘embeera zakyo okugeza Trinidad scorpion; ono yakyazinze okubalagala, bell pepper; ono alina langi ezenjawulo, cayenne pepper; ono kyangu okumukolamu ensaano nomutereka. Obulwadde bwa kaamulali obusinga bweba bacterial leaf spots, anthracnose, blight, stem rot, pepper mosaic, root knot nematodes ate nga ebintu ebirala ebyonona kaamulali mulimu ensiringanyi, ebikuuka bi aphids, ebisaanyi n‘envunyu.
Okulima paka ku kukungula
Tandika nakulonda nimiro ya ttaka jimu, erikulukusa amazzi obulungi, nga litereka amazzi okumala ebbanga nga wali kumpi n‘awantu awali ebidiba engeri kaamulali gyeyetaaga oluzzizzi era nokufukirirwa buli kiseera wabula, bwoba osimba totekako kigimusa ekitanavunda kubanga kikosa enkuuma y‘ebirime n‘okwengera.
Ekyokubiri, zimba ebiziyiza empewo okukuuma ebimera okuva eri embuyaga, olwo ofukirire bulungi nga osimba. Okisimba kyetagisa mu tuntu olwo ebimera bigume okuyita mu kiro wabula bwebuba budde bwambuyaga, okusimba kuba kwa kumakya.
Okweyongerayo, ebinnya bijjuuzemu amazzi agabuguma liita 1-2 buli kinnya era bwobala otekemu endokwa wansi ddala nga zesimbye. Beera nga ofukirira liita 1-2 ez‘amazzi buli kimera buli naku 2-3 nga okyusiriza okusobola okukwatta obulungi era fukirira buli lunaku bwoba wooli wakalu nga wokya.
Beera nga olwanyisa ebintu ebikosa ebirime ne ndwadde ez‘amaanyi nga okozesa endagala ly‘ebiwuka nery‘obulwadde okwewala okufiirwa. Nekisembayo, kungula nga obudde obutuufu butuuse nga osinzira ku bwetaavu bw‘akatale. Kaamulali wa bell alina okukungulibwa nga tanakaddiya kubanaga ayononeka mangu.
Ebisomooza
Ettaka obuttaba na biriisa kireeta okusomooza okugeza bwewataba potassium kivirako ebikoola okukala ku mabbalai, bwewataba nitrogen kireeta ebikoola okuguba nokufuuka kitaka, magnesium okwerukiriraaleeta ebikoola okwefunya ate nitrogen ayitirdde aviirako ebimuli okuyiika.