»Okukola nakavundira (luganda)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=jIjuLWWHDKo

Ebbanga: 

00:06:03

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

povertyactionorg
»«

Nakavundira n‘ebigimusa by‘obutonde bisobola okuba eby‘omugaso eri ettaka n‘ebirime. Waliwo engeri bbiri eziyitibwamu okukola nakavundira ono omuli; okutuuma n‘okusima ekinya.

Nakavundira ayongera ebiriisa mu ttaka, obuzimbe bw‘ettaka era nakola nga engeri endala etali ya bbeeyi bwogeregeranya n‘ebigimusa ebikolerere ebikola kye kimu eky‘okwongera ekiriisa mu ttaka.

Okukolamu nakavundira.

Okukola nakavundira sooka osime ekinya mu kifo ekirimu ekisikirize ku nsaloosalo y‘ennimiro gy‘oteekateeka okusa ekigimusa. Ekinya kirina okubeera n‘obugazi bwa fuuti 4, obuwanvu bwa fuuti 2 n‘obuwanvu bwonna okusinzira ku bikozesebwa by‘olina.

Jjuza ekifo n‘ebintu ebiggumu nga ebisoolisooli era ozzeeko omutendera omulala gwa 15cm naye nga mulimu ebimera ebikalu nga omuddo omukalu n‘ebikoola. Yiwako amazzi ku ntuumo okusobola okugonza ebintu ebyo n‘okwanguya enkola y‘okuvunza oluvanyuma gattako omutendera ogusembayo ogwa ebiggimusa ebiva mu nsolo.

Oluvanyuma lw‘okugattako omutendera ogwokusatu mansako amazzi ogatteko evvu eryongera ebirungo ebya potassium,phosphorous,ne calcuim ekikakkanya eminyo mu kiseera ky‘okuvunda kw‘ebintu.

Oluvanyuma lwokugatibwako kw‘evvu gattako ebintu byonna ebya kiragala byosanga kubuwanvu bwa 15cm awo n‘omansira ettaka ly‘okungulu eggimu oba nakavundira omukadde.Wano osobola okuddamu emitendera gyonna egigobererwa bwoba okyalina ebikozesebwa ebimala oluvanyuma obikke n‘ebimera ebikalu.

Yisa akati akawanvu nga kasongovu bulungi mu ntuumo nga oliko walako oluvanyuma kalekemu kakozesebwe mu kupima ebbugumu.Ggamu akati buli kadde okusobola okumanya wa w‘ebituuse kyusa entuumo buli luvanyuma lwa wiiki bbiri oba ssatu bwomalimiriza era oddemu nga wayiseewo wiiki ssatu okuva ku lukyusa olwasooka.

Oluvanyuma lwa wiiki mukaaga, nakavundira alina okuba nga atuuse okukozesebwa naye bwaba akyali omuddo ogwa kiragala oba ebikoola abatanaba kutuuka kozesebwa era alina okuweebwa obudde ayongere okuvunda.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:56Nakavundira n‘ebigimusa ebirala ebivudde mu by‘obutonde byamugaso nnyo eri ettaka n‘ebimera.
00:5701:30Sooka osime ekinya ekirina obugazi bwa fuuti 4, obuwanvu bwa fuuti 2 okusinzira ku bikozesebwa bwolina mu kifo ky‘ekisikirize.
01:3101:54Jjuza ekinya n‘ebimera ebikaluba nga ebisoolisooli era ogatteko omutendera ogw‘okubiri ogw‘ebimera ebikaze nga omuddo ogukaze.
01:5502:32Mansira amazzi ku ntuumo era ogatteko omutendera ogw‘okusatu ogw‘ebiggimusa by‘ensolo.
03:1203:42Oluvanyuma lw‘okuteekako evvu,gattako ebimera byonna ebya kiragala ebiri mu buwanvu bwa 15cm oluvanyuma omanseko ettaka ly‘okungulu eggimu oba nakavundira omukadde.
03:4304:29Emitendera gy‘okukola nakavundira gyonna bwegiba giwedde. Ddamu emitendera gyonna bwoba olina ebikozesebwa era oluvanyuma obikke n‘ebimera ebikalu.
04:3004:45Yisa akati akasongovu era akawanvu mu ntuumo okusobola okukola nga akapima ebbugumu.
04:4604:58Kyusa entuumo oluvanyuma lw‘ebbanga lya wiiki 2 ku 3 era oddemu obikyuse mu wiiki ssatu okuva ku lukyusa olwasooka.
04:5905:27Nakavundira alina okuba nga otuuse okukozesebwa mu bbanga lya wiiki mukaaga bwaba tanaba awo omuwamu obudde navunda.
05:2805:45Nakavundira ayongera ebiriisa eby‘enjawulo mu ttaka, ekikula ky‘ettaka,ate ya layisi okukozesebwa okusinzira ku bigimusa ebirala ebikolerere.
05:4606:03Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *