»Entangira y‘ebirwadde n‘ebitonde ebyonoona ebirime ngabigatiddwawamu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=TtgoIrKuYlg

Ebbanga: 

00:05:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

povertyactionorg
»«

Ebisolo byonoona ebirime era nebikeendereza ddala amakungula g‘omulimi nga bikeendeza ekiffo ebikoola webikolera emmere , okuffa kw‘ekirime, n‘okukula empola.

Wabula wogoberera endagiriro eteekateekeddwa obulungi ey‘okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirimme kiyamba mukuziyiza obulabe obukolebwa obuwuka obwonoona ebirime by‘omulimi olwo nekiviirako okwongera ku makungula okuva mu nnimiro y‘omulimi okugeza amakungula gakawo, soya n‘ebinnyebwa.

Okulwannyisa ebitonde ebyonoona ebirime.

Nga tonaba kusiga ,jjanjaba ensigo ng‘oziteeka mu ddagala erikakkasiddwa mu kulwannyisa obuwuka wabula kinno olina okikola oluvannyuma lw‘okwebuuza ku mulimisa.

Okuziyiza emmese ne kkamujje, olina okutega emitego oba eby‘okulya ebiriko obutwa okwetoloola ennimiro.

Ziyiza obuwuka obwonoona ebirime ng‘osimba embala eziremesa obuwuka bunno.

Kozesa eddagala ng‘okulibwa kw‘ebitonde kususe kubanga kuyinza okuviiirako okufiirizibwa.

Weziba ensiringannyi kyusakyusa ebirime era weyambise enkola y‘okuyonja obuulungi faamu.

N‘ekisembayo,tangira omuddo mu nnimiro kubanga gusobola okukweka ebitonde ebyonoona ebirime.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:35Ebisolo ebyonoona ebimmera nga bibirya.
01:3601:54Jjanjaba ensigo era oziteeke mu ddagala nga tonasiga.
01:5502:28Tteeka emitego oba eby‘okulya ebitereddwako obutwa okwetooloola ennimiro.
02:2903:55Ziyiza ebisolo ebyonoona ebirime ng‘osimba ebimmera ebiremesa obuwuka.
03:5604:25Kozesa eddagala ng‘okulibwa kw‘ebitonde kususe.
04:2605:00Weziba ensiringannyi kyusakyusa ebirime era weyambise enkola y‘okuyonja obuulungi faamu.
05:0105:25N‘ekisembayo,tangira omuddo mu nnimiro kubanga gusobola okukweka ebitonde ebyonoona ebirime.
05:2605:43okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *