Ensujju elina obuwangazi butono singa eba teterekeddwa bulungi wabula obuwangazi busoboola okwongezebwako paka ku mwezi 6-12 okisbozesa okusigala mukatale ebanga eddene.
Ensujju zirimu ekirisa ela zirina obusoboozi okuwangala ebbanga eddene singa ziba ziterekeddwa bulungi.Kungula ensujju enkulu nga zirina omubiri omugumu ate era nga tezirina bulwaddekuba bwotakolakino kyandizivirako okwononeka amangu. Jako obukonda(stalks) n‘ettaka okwewala okwonona enddala nga zitelekeddwa.
Zikarizze mu kasaana okumala enaku 7 era zibikeko n‘akaveera ekkiro okwewala obuwewevu n‘ettaka.
Okuterekebwa munda
Tekateka sitoowo nga eno elina okuba nga nkalu bulungi, nga mpewevu era nga eyiisa bulungi empeewo. Erina okuba na massa kubanga okutereka wansi kyandivirako obunyogovu obwandiyonoona ensujju zo.Nga otereka ensujju, teeka ensujju enene wansi olwo entono wagulu wazo okwetangira ennene okumementula entono Sitoowa jikume nga nyonjo era nga teyingiza bitonde bisoboola kw‘onoona nsujju.Yanikka ensujju buli luvanyuma lwa wiiki 1-2 nga ziri mu terekelo/sitoowa. Jamu ezivunve/ ezononese mu sitoowa ela teka lime mu nnyafa z‘ekisenge kubanga kino kikendeza okwononeka okweyongela. Twala ensujju mu kataala mu bungi kuba kino kikendeza kubisale bw‘entabula.