Bwosimba ensigo enfu kiretera okufulumya ebirime ebinafu era ebirwadde ekikendeeza kumakungula.
Okulonda ensigo ennungi n‘okugijjanjaba n‘eddagala ly‘obutonde nga tonnasiga kyongera kumakungula n‘okukula obulungi okwempindi. Okufuna ensigo ennungi ez‘omutindo kitandika na kungula nsigo okuva mubirime ebiramu era ozangyale ku ttundubaali. Zinnyike osobole okujjamu amayinja n‘ensigo enfu olwo osigaze ensigo ennamu ennene.
Okujjanjaba ensigo
Osobola okujjanajaba ensigo ng‘okozesa eddagala ery‘obutonde okuziyiza endwadde eziretebwa ensigo oba ettaka. Zino ziyinza okugulibwa okuva mubatunzi b‘eddagala abesigwa abali mukitundu kyo. Trichodema atera okukozesebwa, kino kiyamba enkula ennungi eyobuwuka obuyampa kunkula y‘emirandira. Ensigo zisobola okusibwako akabubi n‘ebigimusa eby‘obutonde okwongera amanyi munkula.
Obuwuka bu rhizobium buyamba okugatta ekirungo kya nitrogen okuva mu mpewo, muttaka. Phosphate yeyambisibwa okugema obuwuka bwa bacteria n‘okwongera ku kubeerawo kwa phosphorus mu ttaka nga tonnasiga.
Bwoba tonnatandika kujjanjaba nsigo, nyika olubatu lwa sukaali mu giraasi yamazzi, teekamu kkilo emu e‘yempindi mukintu ekiyonjo bwomala mansilako ekitundu ky‘ekijiiko ekya tricoderma otabule n‘ensigo. Gattamu ebijiiko bibiri ne kitundu ebya rhizobia ogoberezeeko phosphate mukipimo kyekimu. Ffukirirako amazzi agalimu sukaali kunsigo bwomala otabule, oluvannyuma yanika mu kikome okumala essawa nnamba.
Okukola eddagala erigema ery‘obutonde
Tabula embatu biri ez‘obusa bw‘ente n‘ekitundu kya liita eky‘omusulo gw‘ente, ebijiiko bisatu ebya limu, eggiraasi emu eyamata ne liita kumi ez‘amazzi mu ppiipa eya ppulasitiika. Leka olutabu okumala ekiro kimu oluvannyuma olutabule n‘omuti omukalu olunaku oluddirira. Olutabu luno lusobola oketerekebwa mu kontaina etayisa mpewo okumala omwezi gumu.
Tabula ekikopo ekyolutabu mu kkiro emu ey‘ensigo, tabula oyanike mukikome nga tonnasiga.