Emiwendo nga mitono, obutungula nga bwambala ennungi era nga bwawebwa ekigimusa busobola okungulibwa, okukazibwa ele nebuterekebwa mungeli entufu. Buno busobola okutundibwa oluvanyuma nga emiwendo girinye.
Embala/ebika ebitwala ebanga eddene okukula ate nga n‘ebikoola bikala bulungi nga obutungulu bukuzze butelekebwa bulungi. Obuwuka obuletela obutungulu okuvunda buyingirira waggulu nga ebikoola bisaliddwa ko nga tukungula.
Engeri jogimusamu obutungulu nayo elina kyekola kuntereka yabwo.Weyambise nyo ebijimusa eby‘obutonde nga ojimusa obutungulu wabula n‘ebyo ebikolelele( ebizungu) bisobola okozesebwa. Tekako ebigimusa ku butungulu nga bukyali buto ela olekele awo nga ebula emwezi ebiiri okungula.
Entereka y‘obutungulu
Obutungulu bwebuba bwa kutereka, kungula nga ekitundu kimu ku ky‘akusaatu kubikoola nga bikazze. Osoboola okuwetta ebikoola byo obutungulu okusobola okubikaka okukala.Nga okungula, obutungulu bukwate bulungi okwewala obukoosa ela butwale mukifo omuli ekisikirize olw‘osaleko ebikoola. Toyoza ela towatta obutungulu.
Yongela okukazza obutungulu enaku endala entonotono mukisikirizze. Osoboola okubukyusa kyusa omulundi guma okubusobozesa okukala ekyenkanyi. Tereka obutungulu mukifo ekiwewevu ate nga kikalu nga ela nga kisobozesa empeewo okutitta mu obulungi. Wewale nnyo okutuma obutungulu. Ekifo awanaterekebwa obutungulu kirina okuwanikibwa waguluko nga empeewo esoboola okuyitta wansi ne waggulu wobutungulu.
Osoboola okutereka obutungulu mu kyagi. Akasolya ke kyagi kalina okuwanvuyizibwako nga mita 1 okwewala enkuba obutonyamu. Osoboola okuzimba sitoowa eyabulijjo nga ebinge bigule okuyingiza empeewo. Obutungulu butekebwa mu massa. Mukusembayo, bulijjo wekebeje ela ossule/oyawule obutungulu obuvunze oba obutandise okumeruka.