Okwongera okufuna mu nkoko olina okugoberera emitendera egimu. Olwo okulunda ne kuba kwa magoba.
Bw‘ogula enkoko yo, genda mu katale k‘ewaka. Kikubirizibwa okugula enkoko ennansi. Nga tonnagula nkoko kakasa nga weekebejja obubonero. Enkoko nnamu era y‘amaanyi? Ennyuma w‘enkoko wayonjo era enkoko terina kiddukano? Gula enkoko ezitabiikangakoku magi. Kakasa ng‘ogema enkoko eri ebirwadde eby‘amaanyi.
Ennunda y‘obukoko obuto
Akakoko akato kasoola okubiika amagi oluvannyuma lw‘okuweza emyezi ng‘etaano. Olwo esobola okwongera okubiika obulamu bwayo bwonna, mu nkoko ekitegeeza emyaka ebiri ku esatu. Osobola okulaba enkoko eyabiika ku magi, kubanga olubuto luba luzitowa era nga lugumu. Kikulu obutabeera na nkoko mpanga nnyingi (empanga emu ku nkazi 9), kubanga zikaayanira obuyinza ekikendeeza ku magi agabiikibwa.
Enkoko bweba ng‘eyalula, emaamira amagi gaayo okumala ennaku nga 22 ku 23. Amagi ne bwe gaba gayaluddwa obukoko bwetaaga ebbugumu lya amaama waabwo. Mu kiseera kino enkoko eyalula tebiika magi malala.
Enkuuma y‘enkoko
Bwoba olina famire ennene oba ng‘oyagala kukola bizinensi osobola n‘okugula endala. Empanga emu emala enkoko 9.
Oluvannyuma lw‘okuleeta enkoko zo awaka, olina okuzimba ekiyumba ky‘enkoko ekirina amasa abiri enkoko mwe zisula. Mu ssa erya waggulu osobola okuteekamu obukoko obuto ate mu ssa erya wansi n‘oteekamu enkoko enkulu. Kakasa nti olongoosa ekiyumba ky‘enkoko buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.
Ziriise omuceere, kasooli, barley n‘ensaano y‘engano. Bwoba olina enkoko ezibiika ziteere emmere n‘amazzi kumpi nazo. Oluvannyuma lw‘ennaku 8 osobola okukebera ku magi ne tooki okulaba oba gasobola okwalulwa. Obukoko bwe bwalulwa buggye ku maama waabwo: oluvannyuma lw‘ennaku 7 mu bbugumu, era oluvannyuma lw‘ennaku 14 mu bunnyogovu.