Mukusimba omuceere obuterevu mu lunyiriri, oyina okugonjola obuzibu, nti mu kiseera eky‘okutema emifulejje amazzi gaba matono ddala. kinno kikola mu nimiro omutemeddwa emifulejje era mu biseera eby‘ekyeya.
Abalimi banji bakabala emirundi mitono nga tebanatema mifuleje, naye okutema emifuleje kwetagisa enkuba nnyingi. Kubanga obudde bukyuka netonnya oluvannyuma era tewabeerawo nkuba emala mu biseera by‘okutema omifulejje. Kinno kiretera ebimera okukula oluvannyuma, naddala mu nimiro ezilina ettaka epewufu.
Okukuza omuceere ogusimbibwa obuterevu mu nnimiro.
Funa omuceere ogw‘omutindo ogw‘amakungula amalungi. Wokozesa eddagala erita omuddo ly‘otekenenyeza mungeri yonna lijja kutta omuddo, ekiyinza okuba ekizibu ,naddala mu mwaka ogusooka. Kozesa esaawa essattu ezisooka nga tonasiga , kubanga wotakikola oyinza okutta ensigo.
Simba ensigo mu nyiriri . N‘olwekyo ,osobola okozesa Ekyuma ekiyitibwa lithao oba ekisimba ekikozesa amasanyalaze okusiga ,womala okikozesa osobola okuteekamu ensigo ng‘okozesa engalo. Okukozesa ekyuma kinno olina okukabala ettaka obulungi , ettaka nga pewufu.
Ekyuma ekisimba ekikozesa masanyalaze kikola buli kimu mu mutendera gumu. kisala ebinnya mukaaga , nekisiga ensigo era nekizibika n‘ettaka. Ekyuma kinno kirungi nnyo mu kukekereza obudde n‘okusiga awantu awanenne.
Ebirungi ebikirimu
Omuceere ogusimbiddwa obutereevu mu nnimiro gwetaagisa amazzi matonno , abakozi batono ne sente okusinga omuceere omusimbulize. Mu kwongerezaaako, okukungula kuba kutuuse mu wiiki emu oba bbiri mu maaso.
W‘okungula ebimera byo mubwangu osobola okutandiika okusiba ekimera ekidako amangu era. Ebimere byoyinza okusimba mu wiiiki emu oba bbiri mu maaso mulimu: lumonde ,kalidaali ,muwemba oba kasooli . Ebiseera ebimu osobola okusimba ekimera eky‘okusattu.