Okuweta kusobola okuba okwamagoba eri amakungula singa kuba kukolebwa bulungi. Bwogema kasooli amazzi matono agatuuka ku munwe.
N‘olwensonga eyo ekirime kikala bulungi, kivunda kitono ate era kirwala kitono neera empeke tezirumbibwa binyonyi ebiseera ebisinga.
Kiseera kyekimu, kasooli ajja kulekera awo okukula nga tafuna mazi, emmere na masanda okuva muttaka. Olina okakasa nti ofuna ekiseera ekituufu okuweta kasooli.
Ekiseera ekituufu okuweta
Buli ekirime bwekikula nga kyakiragala kiba kikulaa. Nye ekirime bwekitandika okwengererera ne kitandika ofanana ekisoolisooli awo kiba kikaze. Susa omunwe gumu ogwakasooli ogyeko empeke entonotono oba kuliko obutundu obuddugavu kuntwe y‘akasooli. Bwe bubako manya ekiseera kituuse ekyokuweta kasooli.Jjukira nti, ojjakwonona kasooli singa omuweta nga bukyali.
Kasooli akula empola yeetaga obudde obumala nga tannawetebwa. Bwoba olina kasooli akula amangu, osobola osobola okwongeramu ebirime bya sizoni ey‘okubiri munnimiro yo okugeza ebijanjaalo oba entungo.